lirik.web.id
a b c d e f g h i j k l m n o p q r s t u v w x y z 0 1 2 3 4 5 6 7 8 9 #

lirik lagu bobi wine - ddembe

Loading...

we no promote no violence
we condemn the violence
rasta no promote no violence; hear me out…

mbalaba abakubagana, abalumagana, abatemangana
mbalaba abavumagana mu kifo ky’okulungamya
omuntu eyandibaddewo okulungamya abavubuka
kati ate y’abakulembera mukukola obutabanguko
eh bino bwenabirabye natidde nnyo
okulwana mu bavubuka kususse nnyo
ng’ate abakulembeze kibaswaza nnyo
wamma abavubuka nze nsaba tukole bwetuti

nsaba okulonda kubeere kwaddembe
ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
bannayuganda mulonde mu ddembe
awo obulamu butunyumire
nsabye, okulonda kubeere kwa ddembe
ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
bannayuganda tubeere ba ddembe
ah n’omwaka gubanyumire

kuva ku “independence” tuli mu ntalo
ky’ekiganye ne uganda okkula lwantalo
buli “government” eja nantalo
era baagala okugenda zibe nga ntalo
bakikola batya eri ebusukka nsalo
abakyusa awatali kulwana ntalo
lwaki temukitandika ba ssebo?
ng’ate mwagamba ky’ekyabalwanyisa entalo
lwaki oyoza engoye enjeru, ate n’ozanika ku kiti kyenziro?
lwaki temulabira ku mandela
yafuga kimu nata bendera
abakulembeze okulwa mu ntebbe
kyekiretera uganda okufuuka eddebe
buli ayogerako ng’olwo afuuse mulabe
ekyo tekituzimba tuba tudda mabega
abantu obaleka nebalondawo
omuntu atakoze nebamujjawo
ekyo ne ssemateeka akyogerako

wabula,
nsaba okulonda kubeere kwaddembe
ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
bannayuganda mulonde mu ddembe
awo obulamu butunyumire
nsabye, okulonda kubeere kwa ddembe
ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
bannayuganda tubeere ba ddembe
ah n’omwaka gubanyumire

now this is a message to every ugandan
especially the candidates
right from lc1 straight up to president
violence is backwardness
while peace is god bless
gano g’emazima gali agakaawa
at-n-labuka kati nkubuusa “boy”
bw’oba nga mu mazima oyagala uganda
ne mu bikolwa okiraganga
tuzimbe omusingi oguyamba uganda
n’abaana baffe kwebalirabira
bamanye nti omuntu okugenda mu buyinza
tekikyetagisa kuyiwa musaayi
bamanye nti abantu besimbawo
abantu nebalondako
asinze n’abafuga
gwebasinze n’amukwata ne mu mukono
naye abakulembeze kati mutulaga kimu kyakulwana
lwaki mutukuza bubi?
laba bwetukuze ffena nga tumanyi kimu kya kulimba
lwaki mutukuza bubi?
nze bwenjogerako ku kituufu n’onzigulako emisango
awo oba otufuze bubi
ayawuka n’endowoozayo tekimufuula mulabe wo
ffena tuli banna “u”
omukulembeze omulungi awuliriza ebiruma abantu
n’abaako ky’akolawo
buli munnayuganda w’oli kikakatako okukuuma emirembe
ffena tuli banna “u”

nsaba okulonda kubeere kwaddembe
ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
bannayuganda mulonde mu ddembe
awo obulamu butunyumire
nsabye, okulonda kubeere kwa ddembe
ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
bannayuganda tubeere ba ddembe
ah n’omwaka gubanyumire

“the magic” is a real magician
“dream studio” gyeguvugidde
“the magic” is a real magician
yeah man, “for god and my country”
kampala, uganda, africa… bwah


Lirik lagu lainnya:

LIRIK YANG LAGI HITS MINGGU INI

Loading...